Breaking News

Twekobe ewedde - Katikkiro Mayiga


KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti teri muntu agenda kukyusa bintu bya Buganda n’okubikulaakulanya wadde banaleeta Abachina okuggyako Abaganda bennyinni.
Asabye buli muntu okuweereza Obuganda obutaweera okutuusa lwe bulituuka ku ntikko. Bino yabyogedde ku Lwokutaano ng’alambula omulimu ogukolebwa abantu ba Kabaka okuli ab’ekibiina ky’Abaganda Nkerettanyi abali ku mulimu gw’okuzimba bbugwe ku Twekobe mu Lubiri e Mmengo. ‘‘Njagala ebibiina byonna birabire ku Baganda Nkerettanyi abakola omulimu n’omutima gumu, okwewaayo era guno gwe mwoyo gwa Buganda ogutafa,” Mayiga bwe yagambye.
Yayongedde n’ategeeza ng’Omulimu gw’okuyooyoota Twekobe bwe gulina okuggwa mu bwangu kubanga Kabaka Mutebi II alina okugikozesa okutandika nga July 24, 2018 lwe bagenda okugimukwasa. “Omulimu gwokuteeka ebibajje eby’omulembe mu Twekobe gutambula bulungi era ng’ebisigaliddeyo twagala biggwe mu bwangu kubanga omukolo gwetugendamu mu maaso awo ogw’Amatikkira ga Kabaka mukulu nnyo era nneebaza bonna abavuddeyo mu nteekateeka zino’’. Mayiga yasabye abantu okujja okuwaayo ensimbi mu nteekateeka eyitibwa Akejaago nga buli yenna awulira ng’ayagala okwejjagira awamu ne Kabaka wakwanirizibwa ku Lwokubiri July 24, 2018.
Ssentebe w’Olukiiko oluvunaanyizibwa ku kuteeka ebibajje n’ebiwunde mu Twekobe, Godfrey Kirumira yagambye nti obuvunaanyizibwa obwabaweebwa kumpi buwedde nga mu kiseera kino bali mu kuteeka biwempe bizungu ne kateeni mu maddirisa ate n’ebibajje ebirala biteekebwemu oluvannyuma. Bino byonna bikolebwa ng’Obwakabaka bwetegekera okujjaguza emyaka 25 bukya Kabaka Mutebi II atuuzibwa ku Nnamulondo ya Buganda nga kwakubeerawo nga July 31,2018 mu Lubiri e Mmengo.
N’ekizimbe kyennyinni kiri mu kuyooyootebwa okuli okuggya enfuufu ku maddirisa n’okwooza amabaati. Mayiga yawerekeddwaako Baminisita: Dr. Twaha Kaawaase, Rita Namyalo, Noah Kiyimba, Mulema Mukasa, Jose

No comments