Breaking News

sajjakuddeAba Basaalirwa bakubaganye ne poliisi e Bugiri


POLIISI y’e Bugiri eggulo yasiibye erwanagana n’abawagizi ba Asumani Basaalirwa oluvannyuma lw’okugwa mu lukwe nga Hajji Siraji Lyavala eyavudde mu lwokaano luno ne yegatta ku Basalirwa awambidwa poliisi ku biragiri bya ssabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba.
Ku Lwokuna Kasule yakedde mu maka ga Hajji Lyavala agali mu kibuga Bugiri ne beesogga akafubo ke batakkirizaamu bannamawulire akaamaze essaawa nga bbiri. Poliisi yazze n’ezingako amaka ga Hajji Lyavala nga tewali muntu akkirizibwa kuyingira wadde okufuluma kye baagambye nti, yabadde emugaana kugenda ku lukuhhaana lwa Basaalirwa olubadde ku Bugiri High ekyanyizizza abawagizi ba Hajji Lyavala ne bajirumba.

Abavubuka basatu abataategerekese manya baakubye poliisi ekimmooni ne bayita emmanju w’enju ya Hajji Lyavala ne bamukweka poliisi wetaategedde olwo ne batandika okulumiriza poliisi nga bw’emukwese. Awo olutalo we lwatandikidde poliisi ng’eduumirwa DPC wa Bugiri, Ssebuyungo n’ekuba Tttyagasi n’amasasi mu bantu n’okukuba amasasi okugumbulula abatuuze abaabadde bazze mu lukuhhaana lwa Basalirwa naye nga buteerere.

No comments